donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro alabudde ku bbula ly’amazzi amayonjo mu ggwanga

Katikkiro alabudde ku bbula ly’amazzi amayonjo mu ggwanga
.Wano nga bakubaganya ebirowoozo

.Wano nga bakubaganya ebirowoozo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asisinkanye ab’ekitongole ky’obwannakyewa ekikola ku nsonga z’amazzi n’okutumbula eby’obuyonjo, ki Uganda Water and Sanitation Network (UWASNET), n’abasaba okukola omukago omutongole n’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula eby’obuyonjo.

Katikkiro mu kifaananyi ekyawamu n’abakulembeze ba UWASNET

Katikkiro mu kifaananyi ekyawamu n’abakulembeze ba UWASNET

Abakulembeze ba UWASNET, nga bali Embuga, bazze okwanjula enkolagana gye balina n’ebitongole by’Obwakabaka okuli BBS Terefayina ne REXBA. Era bawanjuza enteekateeka ya kaweefube w’okubunyisa amazzi amayonjo n’okutumbula eby’obulamu mu butale bw’Obwakabaka, nga batandikira mu butale okuli ak’e Kibuye ne Nakulabye.

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, mu nsisinkano eno asoose kulaga obukulu bw’okubeera n’amazzi amayonjo, n’ayebaza UWASNET olw’okuvaayo n’enteekateeka eno ennungi gy’agambye nti esobola nnyo okuyambako okutumbula eby’obuyonjo mu bantu ba Buganda, naddala abakolera mu butale.

Abasabye okuggulawo omukago omutongole n’Obwakabaka singa baba baagala ekitongole kyabwe okwongera okufuna embavu mu mirimu gyakyo.

“Wadde nga mulina enkolagana ne REXBA ne BBS, naye kyetaagisa mugatteko omukago omutongole n’Obwakabaka singa muba mwagala UWASNET efunire ddala embavu, kubanga Obwakabaka bwatandika dda ku kutumbula Bulungibwansi n’Obutondebwensi,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

.Owek. Katikkiro ng’awa obubaka bwe

.Owek. Katikkiro ng’awa obubaka bwe

“Amazzi kye kyobugagga ekisinga okuba eky’omuwendo Katonda kye yatuwa, ate eby’obuyonjo gwe musingi gw’obulamu obulungi n’okuwangaala. Amazzi bwe guba nga tegamala oba nga ssi mayonjo, kireeta endwadde, kubanga abantu tebanaaba mu ngalo, ebyokulya tebabyoza n’obuligoobuligo obulala. Kyenvudde nkowoola Gavumenti okubunyisa amazzi amayonjo mu ggwanga lyaffe,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

Katikkiro era abasabye okukubiriza abantu bonna abakolera mu butale okukozesa enkampa (gloves) okuyambako okukendeeza ku kusaasaana kw’endwadde eziva ku bujama. Agambye nti endwadde zino ziyinza okuleetera abantu okusaasaanya ensimbi nnyingi mu kujjanjaba, ate nga zisinga ku ze bandiguze enkampa.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, agambye nti beetegese okukwasiza awamu ne UWASNET okulaba nga emirimu gye basazeewo okukola mu Bwakabaka bwa Buganda gituukirizibwa bulungi. Akikaatirizza nti bali bulindaala okussa omukono ku ndagaano y’omukago n’ekitongole kino.

Akulira UWASNET, Unia Musaazi, agambye nti ekibawalirizza okutandika kaampeyini y’okubunyisa amazzi amayonjo n’okutumbula eby’obuyonjo mu butale kiri nti babadde balaba ng’obutale bulekeddwa emabega ate nga bukunganya abantu bangi. Agambye nti singa obutale busigala nga tebuliimu mazzi mayonjo era nga bulimu obukyafu, endwadde zijja kweyongera mu bantu.

Ekitongole kino kimaze okuweereza Bannayuganda okumala emyaka 25, era mu Buganda kikolera ebitongole ebiri mu makumi ataano.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK