donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Alabudde Abejjanjabira ku mitimbagano

Katikkiro Alabudde Abejjanjabira ku mitimbagano
Owek. Katikkiro nga atongoza dipatimenti empya mu ddwaliro ly’e Mmengo.

Owek. Katikkiro nga atongoza dipatimenti empya mu ddwaliro ly’e Mmengo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abantu okukomya okwejanjjabira ku mutimbagano kubanga tegisobola kumanya mbeera ya mibiri gyabwe oba butya bwe bawulira; wabula gyo gibawa ebika by’eddagala oluusi erisobola n’okuleeta obulabe singa liba terikwatagana na mubiri gw’oyo alikozesezza.

Katikkiro bw’abadde ayogera bino, abadde aggulawo ekifo eky’enjawulo mu ddwaaliro e Mmengo ekigenda okujanjabirwamu endwadde ezitasiigibwa; era alabudde abenjjanjabira ku mitimbagano.

Mu ngeri y’emu Kamalabyonna asabye Gavumenti okutema empenda okukoma ku bantu abeerimbika mu busawo kyokka nga tebalina bukugu wadde.

Ono agamba mu ggwanga lya China amateeka gakwata abantu abeerimbika mu busawo kubanga bateeka obulamu bw’abantu mu katyabaga, agamba nti Gavumenti ya kuno esaana ekkoppe eya China, abantu abamala geyita ba Doctor nga beeeimbika mu busawo bakwatibwe.

Wano Katikkiro nga ali mu kifananyi ekyawamu ne bakulira eddwaliro ly’e Mmengo.

Wano Katikkiro nga ali mu kifananyi ekyawamu ne bakulira eddwaliro ly’e Mmengo.

Katikkiro Mayiga asinzidde wano ne yebaza eddwaliro ly’e Mengo olw’okuteekawo ekifo kino ekigenda okuyambako mu kukebera, okumanyisa abantu endwadde ze balina ezitasiigibwa olwo bafune obujjanjabi obutuuf.

Endwadde ezitasiigibwa ziwerako omuli; sukaali, puleesa, obulwadde bw’ensigo, Kkookolo, Nalubiri n’endala.

Owek. Mayiga alabudde abantu ku ndwadde zino z’agambye nti ziva ku bugayaavu olw’abantu okulya ennyo ebisiike, ebiwoomerera, obutakola dduyiro n’ebirala. Akuutidde abantu okuteekawo ekiseera ekigere okugenda mu basawo okwekebeza okumanya bwe bayimiridde. Wano era asabye ebitongole okuteekawo enkola ey’obuwaze eri abakozi okukola dduyiro n’okwefaako obulungi.

DR. William Lumu, mukugu mu ndwadde ezitasiigibwa era musawo mu ddwaaliro lino e Mmengo agamba nti abantu bangi mu Uganda wano balwala endwadde zino era zeeriisa, ono naye asabye abantu okugenda mu malwaliro balabe abasawo abakugu okusobola okufuna obujjanjabi obutuufu. Ono ategeezeza nti okusinziira era ku bakugu abantu obukadde 44 mu nsi yonna be bafa endwadde ezitasiigibwa ekyelaalikiriza ennyo.

Ye akulira eddwaliro ly’e Mengo Dr. Simon Peter Nsingo asabye abantu okufa ku bye balya kubanga bikola kinene okuleeta endwadde zino. Ono agamba nti emyaka 128 eddwaliro ly’e Mengo gye limaze, bakizudde ng’abantu bangi basumbuyibwa endwadde zino era kye kyabawaliriza okussaawo ekifo kino babangule n’okujanjjaba abantu endwadde zino.

Katikkiro Charles Peter Mayiga eddwaaliro lino bw’aligguddewo, alambuziddwa ebisenge byalyo eby’enjawulo era n’abuulirwa ebimu kw’ebyo ebigenda okukolebwamu, ate oluvannyuma alambuziddwa n’abamu ku Bannamukago b’eddwaaliro ly’e Mmengo abatambula nabo mu kulwanyisa endwadde zino.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK