
Wano katikkiro nga ayanirizibwa Senkulu wa Bbanka ya Uganda enkulu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga akyadde ku kitebe kya bbanka ya Uganda enkulu okwetaba mu kujjukira n'okwefumiitiriza ku lunaku lw'Abasajja olw'Ensi yonna, omulamwa ogutunuuliddwa kwe “kumalawo okwetta mu basajja”.
Katikkiro ayaniriziddwa Governor Dr. Michael Atingi-Ego n'abakungu abalala mu bbanka eno.
Baminisita; Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Owek. Mariam Nkalubo Mayanja batambudde ne Katikkiro mu nteekateeka eno.

Mu kifanannyi ekyawa mu n’olukiiko olufuzi olwa bbanka ya Uganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde ku biyinza okukolebwa okulamawo omuzze gw'okwetta ogususse mu basajja gw'agamba nti guva mu kusirikira ebizibu ekiviiraako abantu n'okufuna endwadde z'omutwe.
"Emirundi mingi ffe abasajja batukuza kubeera ba maanyi era bazira, kyokka tubeera n'ebizibu bye tusanga ku mirimu, mu maka, kyokka ne tubisikira kubanga bwetutyo bwe twakuzibwa; omusajja takaaba, omusajja taba na ntondo, talwana na bakazi olwo ne tukula nga tulowooza buli kizibu tusobola okukyenganga, tumaliriza oluusi tulemereddwa, ekivaamu bulwadde bwa mitwe" Katikkiro Mayiga.
Yebazizza abakulira bbanka enkulu eya Uganda olw'enteekateeka gye bakoze okwogera ku kizibu kino ng'akikaatiriza nti singa wabaawo embeera ey'olutentezi emanyisa n'okujjukiza abasajja ku kabi akali mu kusirikira ebizibu, kijja kwongera okumalawo embeera y'abantu abetta olw'ebibasoomooza okuyitirira.