Aba Rotary Club ya Antioch, e California, mu Amerika batonnedde Obwakabaka ddoola z'Amerika 7000, nga zibalirirwamu ensimbi za Uganda obukadde obusoba mu 25, okuyambako okusima oluzzi, mu nkolagana n'aba Wells of Life, era zaakwasiddwa Katikkiro wa Buganda, olunaku lwa ggyo.
Rotary Club eno erimu Bannayuganda, nga n'Omumyuka w’Omubaka wa Kabaka ow’Amambuka ga California (San Francisco; Sacramento; Nevada), Paul Kiruuta, naye mmemba waayo.