donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro akyalidde Namwandu w’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere

Katikkiro akyalidde Namwandu w’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere
Katikkiro ng’ayanirizibwa Namwandu Germina Ssemogerere

Katikkiro ng’ayanirizibwa Namwandu Germina Ssemogerere

Katikkiro akyalidde Namwandu w’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, okumubuuzaako oluvannyuma lw’okuwona ekibambulira ky’omuliro ekyakwata ennyumba yaabwe e Lubaga mu mwezi gwa June omwaka guno.

Namwandu Germina Ssemogerere ategeezezza Katikkiro nti ennyumba yali yateekebwa mu yinsuwa, era waliwo essuubi nti ejja kuddizibwawo.

Katikkiro asinzidde ku nsonga eno y’ennyini n’agamba nti kirungi okuteeka ennyumba mu yinsuwa yadde tezitera kukwata muliro. Era ennyumba ey’omuntu ow’ettuttumu Dr. Paul Kawanga Ssemogerere yatambuza nnyo amawulire, era kino abantu bakitwale nga eky’okulabirako okwettanira yinsuwa y’ennyumba kubanga siyabuseere bw’ogeraageranya ne yinsuwa endala, okugeza ey’emotoka, kubanga ennyumba tezitera kukwata muliro kye bavamu bazigerekera ssente eziri wansi.

Agambye nti abantu bangi bafuba nnyo okuteka emotoka mu yinsuwa, kyokka ne bagaana ku nnyumba nga bazibala nga si za bulabe. Asabye abantu batambuze amawulire ku nsonga z’ensuwa y’ennyumba kubanga kye kimu ku bintu eby’ensonga ebyandiyamba obulamu bw’abantu.

Yebazizza nnyo abaana ba Ssemogerere ne Ssaabasumba Paul Ssemogerere olw’okulabirira obulungi Namwandu, era n’abasaba bongere okumugumya.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK