katikkiro nga bamulaga edagala elyenjawulo.
Katikkiro alambudde abakola obuuma obukozesa tekinologiya okwekebeza omusaayi mu bwangu noomanya bwoyimiridde, mu mwoleso gwa tekinologiya e Harare mu Zimbabwe.
Obuuma bukebera endwadde nga; mukenenya, omusujja gw'ensiri, ne Nalubiri.
Katikkiro agamba nti erimu ku kkubo ly'okulwanyisa mukenenya kwe kumanya omuntu bwaba ayimiridde, naddala abavubuka, nga bagenda mu bufumbo kirungi nebamanya bwebayimiridde kubanga okufumbiriganwa n'omuntu nga mwenna mulina akatoffaali akaleeta Nalubiri n'abaana be muzaala baba balwadde.
Asabye abantu okutwala ensonga y'okwekebeza ng'a nkulu ddala.