Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, ng'ali wamu ne Baminisita; Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja n'Oweek. Joseph Kawuki n'ekibinja okuva embuga, bakyaddeko ku kitebe kya Bannamukago aba Wells of Life, e Los Angeles, California.
Ekibinja kya Wells of Life, Nick Jordan, era nga mu mukago gwabwe n'Obwakabaka, baakasima enzizi ezisoba mu 800, mu butundu eby'enjawulo, mu kaweefube ow'okutuusa amazzi amayonjo ku bantu ba Beene. Enzizi zino okusiga zisimiddwa e Kassanda, Mubende, Ssingo, Busujju n'ewalala.
Beeyamye okutwala mu maaso omukago guno nga basima enzizi, okumalawo ebbula ly'amazzi amayonjo mu Buganda.
Kamalabyonna akyali ku lugendolwe olw'okulambula abantu ba Beene mu Amerika, n'okunoonya bannamikago mu byenkulaakulana y'Obwakabaka, era nga wakubeera e Boston, Massachusetts, nga 10 June, 2023, yeetabe mu Missa ey'okujjukira abajulizi ba Uganda nga 11 June, 2023, ku St. Mary's Church, 30 Pond Street, Waltham, n'oluvannyuma asisinkane Bannayuganda ababeera e Boston ku kyeggulo.