Katikkiro, nga ayanirizibwa Ssenkulu wa Madhvani Group, Mw. Mayur Madhvani
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akyaddeko ku kkampuni ya Madhvani Group esangibwa e Kakira. Enkuŋŋaana eno yetabiddwamu Ssenkulu wa Madhvani Group, Mw. Mayur Madhvani, era nga kkampuni eno ekola sukaali, omwenge, amasanyalaze, ebigimusa, n’ebintu ebirala.
Obwakabaka bwa Buganda buli mu kaweefube ow'okwongera okutumbula obulungi bw’embeera z’abantu ba Ssaabasajja Kabaka, nga bassa essira ku kweyambisa emikago n’abakungu okuva mu bitongole eby’enjawulo.
Katikkiro alambuziddwa ebintu eby’enjawulo ebikolebwa Madhvani, nga kuliko okulima ebikajjo, okukola amasanyalaze, n’okuweereza emirimu egy'enjawulo gy’abantu.
Ssenkulu wa Madhvani Group ng’alaga Katikkiro sukaali akolebwa kkampuni eno
Katikkiro abebazizza ku mulimu ogw’okutumbula obulamu bw’omuntu wa bulijjo n’okutonda emirimu mingi, omuli okulima ebikajjo mu Kayunga n’okutandikawo amasomero ag’enjawulo. Yategeezezza nti okutumbula eggwanga kisinziira ku kkampuni ezikola emirimu egikulaakulanya omuntu wa bulijjo.
Katikkiro Mayiga alambuziddwa ebintu bingi eby'enjawulo ebikolebwa kkampuni eno, omuli okulima ebikajjo, okukola amasanyalaze, n’okusomesa abantu, okusobola okutumbula obulamu bw’abantu n’okutonda emirimu.alambuziddwa kkampuni ya Madhvani Group n'ebintu eby'enjawulo ebikolebwa okuli; Sukaali, amasanyalaze, ebigimusa, amafuta, omwenge, bano baatandikawo n'amasomero n'ebintu ebirala.
Ng’ayogera ku mukago gwa Buganda ne kkampuni za bamusigansimbi, Katikkiro yannyonnyodde nti “Ensi yonna okukula eteekwa okubaamu bamusigansimbi, naye abo abakola emirimu egigasa omuntu wa bulijjo oyo asookerwako.