donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro akyaddeko ku kitebe ekya Bill and Melinda Gates Foundation

Katikkiro akyaddeko ku kitebe ekya Bill and Melinda Gates Foundation

Katikkiro Charles Peter Mayiga, asisinkanye abamu ku bakulu abaddukanya ekitongole ki Bill and Melinda Gates Foundation, ku kitebe ekikulu, mu kibuga Seattle, eky'Amerika. 

Ekitongole kino kiyamba abantu mu ngeri ezitali zimu mu byobulamu, ebyobulimi, n'ebirala eby'enkulaakulana.

Ensisinkano ne Katikkiro ebaddemu Ssenkulu Ssenkulu w'ekitongole Mark Suzman, Paulin Basinga akulira ebyemirimu mu Africa, n'Omulangira Samuel Kateregga Ssenyimba omwana wa Nambi, nga y'akulira ebyobulimi mu kitongole kino.

Bawayizzaamu ku nsonga ez'enjawulo, naddala ezeekuusa ku nkolagana n'Obwakabaka mu nteekateeka ez'enjawulo eziyamba abantu. 

Katikkiro awerekeddwako Oweek. Joseph Kawuki, omwami wa Kabaka e Seattle Owek. Moses Mayanja Ggayi Lule, David Ntege, ne Allen Namukasa Kafuluma.

Image

Oweek Peter Mayiga, Oweek Joseph Kawuki ku kitebe ekikulu ekya Bill ne Melinda Gate.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK