Bw’abadde akwasibwa endagamuntu ye ku Bulange e Mengo, Katikkiro agambye nti buli munnayuganda asaanye okuba n’ekimutegeeza nti wa gwanga lino, era nti enkola eno eraga obumu n’obuvunaanyizibwa bwa bannansi.

Agattiddwa nti mu Buganda waaliwo ennono ey’amaanyi ey’okutegeeranga omuntu, ng’omwana azaaliddwa yatwalibwanga eri Jjajja we ne bamutuuma erinnya eriri mu lunyiriri lw’amannya g’ekika, nga lino lyali lifaananira ddala ng’endagamuntu y’Abaganda.

Katikkiro Mayiga asinzidde wano n’ayanjula emigaso gy’endagamuntu, ng’agambye nti yeesigika mu kufuna emirimu, okusaba paasipooti, era nti kati mu East Africa esobola okukozesebwa mu kutambula mu mawanga ag’enjawulo.

Ku ludda lwa NIRA, Stephen Roberts Kasumba agambye nti mu Buganda abantu bajjumbira nnyo okwewandiisa, ng’abantu obukadde 13.36 bamaze okuddamu okuggya endagamuntu zaabwe, ate abalala obukadde 6.15 baabadde tebeewandiisangako.