Katikkiro nga ali nabayizi wamu n'owek Bwanika
Kamalabyonna wa Buganda oweek Charles Peter Mayiga akuutidde abayizi abasoma amateeka ku ssettendekero wa Gulu University, okukozesa obulungi omukisa gwebalina ogwokusoma basobole okukyuusa obulamu bwabwe n'ebiseera byabwe oby'omumaaso.
Katikkiro okwogera bino abadde mu nsisinkano n'abayizi bano abakyadde embuga olwa leero n'abakuutira okukozesa obulungi emyaka gyabwe egy'ekivubuka kubanga gyamugaso nnyo eri obulamu bw'omuntu.
Bano Katikkiro abategeezezza nga amateeka bwe gakwata ku buli muntu mu mirimu gyakola nti singa gagobererwa bulungi kiyambira ddala mu kuzimba eggwanga.
Oweekitiibwa Mayiga bano abasabye okubeera abayiiya, abanyiikivu ate nga bakola nokwagala bwe baba nga bakuyitimuka mu mulimu gw'obwamateeka .
Ssaabawolereza w'obwakabaka oweekitiibwa Christopher Bwanika atenderezza omulimu ogwe ttendo ogukolebwa ku ssettendekero e Gulu mu kubangula abayizi bano bwatyo nasiima omulimu ogwakolebwa Dr Shadiks Mutyaba Ssemakula mu kutandikawo essomo ly'amateeka ku ssettendekero wa Gulu university.
Katikkiro nga abakwasa emijoozi
Oweek Bwanika naye akuutidde abayizi bano okubeera abakozi ennyo okusobola okukyusa obulamu bwaabwe wabula beekwate e kitongole ky'Obwakabaka ekya bannamateeka ekya Buganda Royal Law Chambers kibabangule mu byamateeka.
Akulembaddemu abayizi bano Miriam Nampeera yebazizza Katikkiro olwokubakyalirako gyebuvuddeko ku ssettendekero wabwe, era namusiima olwokubeera mugatta bantu era omukozi afuuse eky'okulabirako ekyamaanyi okwetoloola eggwanga lyonna.
Ono era yebazizza Beene olw'enteekateeka ye misinde egy'amazaalibwa ge gyagamba nti eyambye nnyo okulwanyisa Mukenenya okwetoloola eggwanga lyonna.
Aabyizi bano baguze emijoozi 10 okusobola okuwagira enteekateeka Eno.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ne Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Robert Sserwanga eyeebaziiza abayizi bano olw'okujja era nasaba kano okubeera akabonero eri bannaabwe e Gulu n'amatendekero amalala okugenyiwalako embuga.