Katikkiro akunze abantu okuwaayo omusaayi mu kaweefube agenda mu maaso ku Bulange.
Ategeezezza nti abantu mu biti eby'enjawulo betaaga omusaayi omuli, abakyala abafiira mu ssanya, abagudde ku bubenje, n'abatalya bulungi. Wano wasinzidde nakowoola abantu bajje bagabe omusaayi bataase obulamu bwabali mu bwetaavu.
Okwogera bino Katikkiro abadde asisinkanye Gen. Edward Katumba Wamala bwabadde azze okugaba omusaayi.
Kamalabyonna yebazizza Gen. Katumba Wamala okuwulira omulanga nagwetabamu era nokuwa ekifaananyi eky'omukulembeze omulungi.
Okugaba omusaayi kukomekkerezebwa ku lwakuna olwa Ssabbiiti eno nga 1st April.