
Katikkiro nga awa obubaka bwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza Bannayuganda okukomya okulinyirira obuwangwa bwabwe nga basuusuuta empisa ze bakoppa obukoppi.
Katikkiro abadde ku kwabya olumbe lwa Ssenyonga Maurice ku kyalo Sserugoye, Buloba mu Busiro.
Agambye nti okwabya olumbe nsonga nkulu mu Buganda kubanga mukolo mwe tunywereza ebika, mwe tuzimbira amaka n’eggwanga n’okunnyikiza obumu mu bantu.
Bwatyo akalaatidde Abaganda okufaayo okumanya ensonga eyasinzirawako bajjajjaffe okuteekawo omukolo gw’okwabya olumbe, baleme kutwalibwa nsi na muyaga kubeerabiza buwangwa n’empisa za Buganda.

Wano nga bateekako omusikka.
Ssenyonjo Peter ye musika asumikiddwa okutwala mu maaso omukululo gwa kitaabwe.
Katikkiro amusabye okubeera omukulembeze omulungi eri banne; abawulirize, abaagale, abawe ekitiibwa ng’akulembeza obwetowaze mu byonna by’akola.