Katikkiro nga ayumyamu n'abaana nga tebanatandika mizannyo
Katikkiro akubirizza abazadde okubeera eky'okulabirako ekisooka mu kugunjula abaana.
Ategeezeza nti abaana bayigira nnyo kw'ebyo bye balaba abalala nga bakola, okugeza omwana bw'akula ng'alaba obuvunaanyizibwa mu bazadde be, naye ekyo ky'akola, bw'alagibwa omukwano n'okukolera awamu, naye bw'akula akolagana n'abalala.
Bw'atyo asabye abazadde okugunjula abaana nga babawa eky'okulabirako olwo bafuuke ba buvunaanyizibwa nga bakuze.
Abayizi nga bakumba kulunaku lwabwe olwe byemizannyo
Katikkiro okwogera bino abadde ku lunaku lw'ebyemizannyo olwa Kids and Love Daycare and Kindergarten - Bwebajja, era asinzidde wano n'ategeeza nti newankubadde abaana bwe batwaliba ku ssomero, essira ekkulu libeera ku masomo ag'omu kibiina naye kikulu okuvvumbula n'okutumbula ebitone byabwe naddala mu byemizannyo.
Omuk. Edger Watson, Ssenkulu w'ekitingole ekitwala omupiira mu Uganda y'abadde omugenyi omukulu era ono Katikkiro amwebazizza nyoo okubeera eky'okulabirako kirungi, ng'ate ssi mu byamizannyo kyokka wabula nga musajja muyigirize ddala.