
Katikkiro (wakati) ne famire y'omugenzi Owek. Kaggwa mu maka gaabwe e Mbuya
Katikkiro akubirizza abantu ababeera ebweru w'Eggwanga, America, Bulaaya, Asia n'awalala obuteerabira buvo bwabwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga okwogera bino, abadde Mbuya mu maka g'omugenzi Owek. Tony Kiyimba Kaggwa, gy’agenze okukubagiza namwandu Eva Kagwa olw'okufiirwa mutabani we, Kaggwa Kimera Kagwa, eyafiira e Australia gyebuvuddeko.
Katikkiro agamba nti omugenzi Kimera Kagwa mu Australia, gy'abadde awangaalira abadde mu kibiina ekikumaakuma abantu ba Kabaka ababeera eyo, ekiraga nti bazadde be baamusigamu ensigo y'okutegeera n'okwagala Obuwangwa bwe.
Katikkiro bw'atyo asaasidde nnyo abooluganda olw'omugenzi olw'okuviibwako munnaabwe mu myaka emito, era abasabidde Katonda abagumye n'omugenzi amulamuze kisa.