
Wano Katikkiro mu kifaananyi ekyawamu.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abafumbo buli omu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, ekigambibwa nti kiyamba okwewala obutakkaanya, olwo obufumbo ne bubeeramu essanyu.
Katikkiro aweereza obubaka buno mu muzikiti e Kibuli, bw’abadde yetabye ku mukolo gwa Nikkah ya Manisurah Nakazinga Nambi Kaawaase ne Khalil Wavamunno Mugenyi, nga bano batandise olugendo lw’obufumbo bwabwe leero.
Katikkiro Mayiga ayagalizza abagole bano obufumbo obulungi, n’abakuutira buli omu okufuba okulaba nga munne ali mu ssanyu era nga bawaŋŋana ekitiibwa n’okuwuliziganya.
Bw'atyo yebazizza abazadde okuli azaala omuwala; Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng'ono ye Mumyuka Asooka owa Katikkiro, wamu n'azaala omulenzi Elvis Wavamunno wamu ne ba Maama olw'okutegeka obulungi abaana baabwe okutuusa ne leero lwe babakkiriza okutandika okwetakulira.
Ye Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Taata w'omugole omukyala, asibiridde ababiri bano entanda ya kuwuliziganya ebbanga lyonna, kibayambe okuwangaaza obufumbo bwabwe.
Sheikh Abdul-Salaamu Mutyaba y'akulembeddemu omukolo gw'okusiba abagole Nikkah, ono abakuutidde buli omu okujjukizanga nga munne, n'okwekwata ennyo ku swalah amaka basobole okutebenkera.