donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro akubirizza abafumbo okussa ekitiibwa n’okulaga okwagala mu bintu eby’enjawulo bye bakola

Katikkiro akubirizza abafumbo okussa ekitiibwa n’okulaga okwagala mu bintu eby’enjawulo bye bakola
Minisita Noah Kiyimba nga awa obubaka bwa Katikkiro bye yamutisse

Minisita Noah Kiyimba nga awa obubaka bwa Katikkiro bye yamutisse

Obubaka buno Katikkiro Charles Peter Mayiga abutisse Minisita Noah Kiyimba, amukiikiridde ku mukolo gwa Mw. Kalanzi Isaiah ne Nampijja Christine, kwe bajaguliza emyaka 20 mu bufumbo mu maka gaabwe e Kyengeza mu Busujju.

Nampijja Christine muweereza mu Bwakabaka, era wano Katikkiro w’asinzidde okwebaza bba Kalanzi olw'okumuwagiranga mu mirimu gy'Embuga gy'akola.

Image

Nampijja Christine (owo 5 okuva ku ddyo), okumpi ne bba Kalanzi, n’addirirwa Minisita Noah Kiyimba n’abafamire abalala ne ababaka mu kifaananyi ekyawamu

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK