donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro akubiriza okufuna Abasawo n’Abazaalisa abakugu mu Uganda

Katikkiro akubiriza okufuna Abasawo n’Abazaalisa abakugu mu Uganda
Katikkiro ayaniriza abakulu b’ettendekero ly’obusawo era Dr. Isaac Orec asuubiza okussaawo enkolagana n’Obwakabaka okutendeka abayizi ku nkola ya basale.

Katikkiro ayaniriza abakulu b’ettendekero ly’obusawo era Dr. Isaac Orec asuubiza okussaawo enkolagana n’Obwakabaka okutendeka abayizi ku nkola ya basale.

Abakulira Erimu ku Tendekero Eritendeka Abasawo ku Ddaala ly’Obwa Nnansi n’Obuzalisa bakyalidekko Katikkiro. Bano bakulembeddwamu omutandisi w’ettendekero lino, Dr. Isaac Orec, asuubizza okussaawo enkolagana n’Obwakabaka okutendeka abayizi abasembeddwa obwakabaka ku nkola ya basale.

Mu kubaaniriza, Katikkiro agambye nti waliwo obwetaavu bunene obw’okuwa obukugu obwetaagisa eri abasawo n’abazaalisa, kubanga omuntu okuba omulamu abasawo abamukolako, bateekwa okuba nga batendeke era kya bulabe omuntu okweyita nnansi nga ssi mutendeke.

Obutendeke bwe buyamba abasawo abali ku ddaala ly’obwa dokita okuwa obujjanjabi obwetaagisa, okutegeera ekikuluma n’enzijjanjaba y’akyo.

"Okuwona kw’omulwadde kutandikira ku nkwata omusawo gyamukuttemu, okumulaga ekisa, okumubudaabuda, okulaga okulumwa kw’omulwadde, era nnansi omutendeke obulungi ateekwa okumanya nti obusawo kuba kuyitibwa. Awonno ettendekero lino lyanirizibwa nnyo kubanga amatendekero agasomesa ba nnansi n’abazaalisa gakyali matono nnyo mu Uganda, ate nga obwetaavu bunene okufuna abasawo abakugu," Katikkiro bw’ategeezezza.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK