donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro akubiriza abantu okwettanire okugemebwa omusujja gw'enkaka

Katikkiro  akubiriza abantu okwettanire okugemebwa omusujja gw'enkaka
Image

Katikkiro nga bamugema Omusujja gwe nkaka

Kamalabyonna wa Buganda oweek Charles Peter Mayiga, ankuze abantu mu ggwanga okwettanira okugemebwa omusujja gw'enkaka (Yellow Fever) okusobola okwetangira endwadde Eno.

Katikkiro agamba nti obulwadde buno bukwata ekibumba ngera buviirako abantu bangi okufiirwa obulamu bwabwe.

"Omuntu asooka kuba Mulamu nalyoka akola emirimu egizimba eggwanga".

Okwogera bino Katikkiro n'Omukyala babadde bagemebwa obulwadde bw'Enkaka (Yellow Fever) ku Bulange.

Image

Katikkiro ne mukyalawe wakati nga bakute card zabwe

Akulira abasawo ba nnansi mu ddwaliro ly'e Mmengo Muky. Kibuuka Prossy, nga yakulembeddemu ekibinja ky'abasawo abagemye Katikkiro wamu n'abaweereza b'Obwakabaka abalala, agamba nti kikulu nnyo omuntu Yenna okwegemesa omusujja gw'enkaka okusobola okwetangira endwadde eno.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK