Katikkiro nga ali wamu n'abooluganda nga basanyuka awamu mu ssanyu e Kireka, nga bajaguza obufumbo bwa myaka 38 obwa Andrew ne Sarah Kaggwa
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwongera okunyweza enkolagana ennungi n’abeŋŋanda zaabwe, n'okukolera awamu okwezimba mu mbeera zonna.
Ow’omumbuga agamba nti abantu bangi bakuŋŋaana lwa mikolo, ne mu biseera eby’ennaku, naye ne batafaayo kufuna budde kusisinkana mu ssanyu.
Abooluganda kirungi okusisinkana nga tewali bya nnaku oba kutegeka mikolo, abantu bangi basisinkana lwa kusonda nsimbi oba nnyimbe na kwanjula!
Leero ndumaze wa mukulu wange Andrew Kakeeto Kaggwa gye tukunganidde ng'abooluganda mu ssanyu n'okujaguza okwenjawulo. Omanyi Ssente n'ebitiibwa byagalwa naye eky'obugagga ekisinga lwe luganda n'emikwano.
Mukulu wange ono Kaggwa ye yanzaala mu batiisimu, n'andabirira mu kukula kwange era ne muyigirako ebintu bingi naddala okukolagana n'abantu, n'okwambala kuno kwe mumpaana nakuyigira ku ye, kale mwebaza nnyo okutukumaakuma era mukulisa n'okutuuka ku myaka 38 egy'obufumbo ne mukyala we Sarah Ann Kaggwa.
Asabye abantu ab’enju ez'enjawulo okuyambagananga, buli omu akwate ku malala okwezimba mu bwesimbu.
Omanyi Ssente n'ebitiibwa byagalwa naye eky'obugagga ekisinga lwe luganda n'emikwano.
Okwogera bino, Owek. Mayiga abadde Kireka mu maka ga mukulu we Andrew Kakeeto Kaggwa, gye bakuŋŋaanidde nga abooluganda ku bijaguzo eby’enjawulo.