
Katikkiro nga awa obubaka bwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okukubiriza abantu ba Buganda obuteekubagiza wabula okunyiikira okukola okusobola okuwagira emirimu gy'Obwakabaka gitambule, Buganda edde ku ntikko.
Katikkiro bino abyogedde atikkula oluwalo okuva mu bantu abakiise Embuga n'oluwalo olusobye mu bukadde 112 n'abeebaza olw'okunnyikiza Federo ey'ebikolwa.
Katikkiro agamba nti Buganda Federo tegivangako era ekyagibanja, kyokka nti Buganda tejja kwekubagiza wabula okwongera okukola ebyo ebigitwala ku ntikko.
Abakiise Embuga kubaddeko abavudde mu ggombolola Mumyuka Kammengo ne Mut. I Mpigi, Mawokota ate okuva e Busiro eggombolola; Ssaabaddu Katabi ne Mut. V Nakiwogo, wamu n'abavudde ebweru wa Buganda mu ssaza lya Nnyinimu erya New York / New Jersey.
Waliwo n'amasomero agazze obutereevu okukiika Embuga,