
Owek. Alhaji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo (wakati), ng’awuliriza nga Mwami Kalif Mohammed alaga okusoomoozebwa kw’Abasomali, naddala okuwangaala ng’ababundabunda
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze b’Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ku buli mutendera, nga bagenderera okunyweza enkolagana yaabwe n’Obwakabaka n’abantu.
Bino yabitegeezezza mu bubaka bw’awadde Omumyuka we Asooka, Owek. Alhaji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, bw’abadde asisinkanye abamu ku bakulembeze b’Abasomaali mu Uganda abazze e’Mbuga nga bakulembeddwa Ssentebe wabwe, Omw. Kalif Mohammed.
Abakulembeze bano bawaddeyo ebiteeso ku bizibu bye bayitamu, naddala mu by’obulamu, ebyemizannyo, abavubuka, n’eby’enfuna, nga bayitira mu buvune bw’okuba abanoonyi b’obubudamu. Bagambye nti waliwo n’abagenda mu maaso n’okubasendasenda okubakukusa mu makubo agatali matuufu.

Owek. Alhaji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo (wakati), ne Mwami Kalif Mohammed ku ddyo, ate ku mabbali ge ku ddyo Hon. Hajat Mariam Nkalubo Mayanja, n’abakungu abalala
Basabye okufuna enkolagana ey’enjawulo n’Obwakabaka, nga bagamba nti Abasomaali bangi basize ensimbi mu Uganda era basobola okukolagana n’Obwakabaka mu nteekateeka ez’enjawulo.
Ensisinkano eno abaddemu Minisita Owek. Hajat Mariam Nkalubo Mayanja wamu n’abaweereza abalala.