
Katikkiro n’Oweek. Joseph Kawuki, Minisita w’eby’Obwa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda Ebweru, nga bakomyewo.
Katikkiro akomyewo ku Butaka okuva mu ggwanga lya United Arab Emirates, gy’amaze ennaku eziwera nga asisinkana abantu ba Kabaka, ssaako n’okutongoza Ttabamiruka wa Buganda Bumu Arab and Asia.
Mu bbanga ly’amazeeyo, asobodde okusisinkana bannamikago omuli Sharjah Chamber of Commerce, Dubai Chamber of Commerce, Natural Farm – abasuubuzi b’emmwanyi – era n’okuwa abaami ba Kabaka obubaka obw’enjawulo obunaabasobozesa okuweereza obulungi Ssaabasajja Kabaka.

Katikkiro akyaliddeko aba Dubai National Chamber of Commerce nga boogerera ku kubangawo enkolagana mu by’obusuubuzi n’Obwakabaka.
Nnalambula mu kitiibwa ne mpisa ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya Dubai National Chamber of Commerce, gye twateesa ku kuzimba enkolagana ey’amaanyi mu by’obusuubuzi ne Buganda. Twakkiriziganya okussa essira ku by’obulambuzi ng’ekikulu ekivuga enyingiza, awamu n’okuwanyisiganya eby’obuwangwa.
Kino kye kikomekkerezza okulambula kwange okw’ennaku ttaano mu nsi z’Abawalabu, gye twatongoza Buganda Bumu Arab and Asia Convention, nga twasisinkanye abakulembeze, abantu ba Kabaka n’ebitongole eby’enjawulo mu nteekateeka y’okunyweza enkolagana ey’amaanyi olw’okukulaakulanya Buganda.