N'okulambula emirimu egikolebwa ku nzizi z'amafuta ezisangibwayo.
Olugendo alumaliddeko ku JOBIRI RIG, oluzzi lw'amafuta olusangibwa mu Murchison Falls game Park, nannyikizza ensonga ey'abantu b'omubitundu ebyo okuganywulwa mu mafuta ago.
Akubirizza abantu okweyambisa omukisa gw'amafuta okubaako eby'ettunzi bye beenyigiramu, naddala okulima n'okulunda baliise akatale akaleeteddwa amafuta.
Ku lugendo luno yawerekerwako Omumyuka we Owookubiri, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa; Ssaabawolereza, Oweek. Christopher Bwanika; mw'asisinkanidde Omukama Solomon Gafabusa Iguru I; Kkabineeti ya Bunyoro, Oweek Noah Kiyimba, Omuwandiisi ow'Enkalakkalira Omuky. Josephine Nantege; Bassenkuku b'ebitongole eby'enjawulo, n'abaweereza abawerako.