Nga Pookino akwasa katikkiro ekifananyi kye nyumba Budukkiro
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yabadde Masaka mu ssaza ly'eBuddu gyagguliddewo enju y'omwami w'essaza lino eyitibwa Buddukiro.
Ennyumba eno yazimbibwa mu 1936, kyokka amagye n'ebitongole bya Gavumenti nebigiwamba nebakoleramu emirimu gyabwe oluvannyuma lw'okulumba olubiri mu 1966 ekyaviirako obwakabaka okuwerebwa.
Katikkiro ng'aggulawo ennyumba ya Buddukiro e Buddu
Wabula mu 2019 eyali Ssentebe wa Masaka Joseph Kalungi yakwasa obwakabaka ennyumba eno mu butongole. Olw'embeera gyeyalimu kyali kizibu okuddukanyizaamu emirimu olwo Pookino n'avaayo n'enkola eyefaanaanyirizaako ettoffali ey'okusonda olumuli okuzzaawo ekitiibwa kya Buddukiro.
Mu nkola y'olumuli banna Buddu n'abantu ab'enjawulo mwebayise okukungaanya ensimbi ezisobye mu bukadde 230 ezikozeseddwa ku kujizza obuggya.
Ekifaananyi ky’ennyumba ya Buddukiro eyaggulwawo mu butongole
Bwabadde agiggulawo mu butongole, olwa leero ku mbuga ye Ssaza Buddu Masaka, Katikkiro ategeezezza nti ebintu nga bino bisoboka bulungi okukolebwa singa Buganda efuna federo. Agamba nti ebitundu bisobola okukola ku nsonga zaabyo omuli ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyobutondebwensi, n'embeera z’abantu, ate olwo Gavumenti neekola ku byokwerinda n'enkolagana y'amawanga.
Asabye abaami ba Kabaka n'abakulembeze mu Buddu okukolera awamu awatali kwawula mu ddiini amawanga, oba ebyobufuzi. Abakubirizza okukuuma embuga z'Obwakabaka nga nnyonjo, n'abantu bakuume amaka gaabwe n'ebifo mwebakolera nga biyonjo.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph, ayogedde ku banna Buddu ng'abantu abakakkamu, abanyiikivu, abagezi, bakozi, bagunjufu, era beeyagalira nnyo mu kyokubeera banna Buddu era bulijjo bafuba nnyo okuyitimusa ekitiibwa kya Buddu yonna gyebabeera, noolwekyo bwebavaayo nebaddaabiriza ennyumba Buddukiro kyongera okussa omuwendo ku Ssaza Buddu, wano wabasabidde bongere okunyweza ebibaawula ku balala.
Pookino Jude Muleke, agambye nti obumu obuli mu Buddu bwebusobozesezza omulimu guno okutambula obulungi newankubadde nga mubaddemu amakuuli n'abasekeeterezi.