Katikkiro nga ayogerako eri abavubuka
Okuwa amagezi gano, Katikkiro asinzidde mu bimuli bya Bulange mu nsisinkano ye n'Abavubuka abakola emirimu egy'ekikugu.
Mu kulaba kwe, Katikkiro agamba nti ekintu ekikolera nannyini mulimu obwa kitunzi, bwe bwesigwa, obwerufu, n'omutindo omutuufu.
Wabula anokoddeyo ensonga ez'enkizo omuvubuka zasaanye okwesigamako bwaba ayagala afune mu mirimu gye.
1. Okuteeka ekirowoozo mu kintu ekisobola okuzaala ssente nga kyesigamiziddwa ku bwetaavu. Agamba nti ssi nsonga nebwekiba kitono kubanga oyo atasobola kuba na bitono, n'ebinene tasobola ku bikola.
2. Okuyiga omulimu oli gwayagala okukola. Kamalabyonna agamba nti kikulu okwekkaanya akatale byekaagala.
3. Okubeera omwerufu. Ategeezezza nti obulyake, obukuluppya, tebuwangaaza mirimu. Ggwe nannyini mulimu ofiirwa olw'abaguzi okukujjamu obwesige.
4. Obugumiikiriza. Katikkiro agamba nti Obugagga bulwawo okujja era kitwala ebbanga okufuna mu byotunda. Kikwetaagisa okumanya byewetaaga gyebiva, enkwata yaabo boogulako ebintu byo, kikulu nnyo.
5. Bakole nokwagala. Banyirize emirimu gyabwe gyongere okusikiriza abaguzi.
6. Obutalya nsimbi kuzeemalako. Ensasaanya y'ensimbi erina okutambulira ku nnyingiza, ssente omuntu zaafunye asaanye yeyambiseeko ezimu mu bya bulijjo, aterekeko, ate endala azizze mu mulimu.
Abavubuka ngabolesa byebakola eri katikkiro
Mu bufuu obwo Katikkiro akuutidde abavubuka bano okuba n'ebitabo mwebawandiika ennyingiza ne nsasaanya bamanye business zaabwe bweziyimiridde.
Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Ssaalongo Robert Sserwanga, akubirizza abavubuka okutunuulira emikisa egibeetoolodde, bagyeyambise bagikolemu emirimu kubanga ne Gavumenti eyamba oyo eyatandika, noolwekyo tekigasa kufuna ssente kuva mu myooga nga tolina kyogenda kuzikolamu kya buvunaanyizibwa.
Ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, Oweek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, annyonnyodde nti enkola ya Directory of Industrial Training, yagunjibwawo okubangula abavubuka abaliko byebakola bafunemu obukugu n'ebbaluwa eziraga nti baakuguka mwekyo kyebakola.
Kulw'abakiise b'abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, Oweek Kizito Mulwana, asabye abavubuka okunyweza emirimu gyebakola naddala egy'emikono abantu bajja kubettanira.
Abavubuka ab'enjawulo okuli, ababazzi, abaweesa, abasiiizi b'ebifaananyi, abalimi, aba tekinologiya, boolesezza bye bakola era Kamalabyonna abalambudde n'abakuutira obutaddiriza wabula bakanye kutumbula mutindo gwebyo bye bakola.