Kabaka Mutebi II ng'atuusa obubaka bwe ku nsonga za ssiriimu
Twagala abantu baffe babeere nga balamu, nga bamanyi engeri y'okwekuuma, okulabirira eŋŋanda zaabwe, ne bannaabwe abalina obulwadde buno.
N'olwekyo, tuleme kukoowa okujjukiza abantu baffe okwewala obulwadde bwa ssiriimu kubanga bweyongedde mu Ggwanga lyaffe. Ensonga y'okulowooza nti eddagala weeriri, tuleme kugyesibako nnyo mu kifo ky'okwekuuma.
#WorldAIDSDay