Aba Heifer International nga bali ne baminister ba Kabaka
Nga bayita mu mukago guno bagenda ku bunyisa amasannyalaze ag'amaanyi g'enjuba era batondewo ennimiro ez'okuyigirwako ku buli Ssaza (demonstration farms) n'okuwa abantu Ente ez'okulunda era kaweefube ono agenda kuvujjirirwa ekitongole ki Mott Foundation ekiddukanyiza emirimu gya kyo mu America wabula nga kati kibunye amawanga agawerako ku ssemazinga ow'enjawulo.
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, kulwa Kamalabyonna, ayanirizza banna mukago bano n'akinogaanya nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, aludde nga atakabanira okutumbula embeera za bantube ng'ayita mu kaweefube ow'enjawulo okugeza okulima emmwanyi, nti era enkolagana n'aba Heifer International, ya kwongera amaanyi mu kaweefube ono.
Omukungu Edward Ndagala kukono eya kikiridde Kabaka Foundation ne William Matovu yeya kikiridde Heifer International
William Matovu akulira ekitongole kya Heifer International wano mu Uganda, agamba nti enkolagana ne Kabaka foundation egendereddwamu okutumbula embeera z'abantu abasookerwako abali mu bulimi n'obulunzi okulaba nga basobola okukyusa embeera z'obulamu bwabwe nabo basobole okufuna ensimbi okuva mu mirimu gyabwe.
Neal Hegarty amyuka omukulembeze wa Mott Foundation, ategeezezza nga bwe baatandika emirimu gy'e kitongole kino ku mulirwano e Tanzania mu mwaka gwa 2015, ng'essira liteekeddwa ku nsonga y'Obutonde Bw'ensi, eby'enjugiriza eby'omutindo, eby'enfuna n'ebirala, nga bayita mu kukolera awamu n'ebitongole ebirala bwebafaanaganya okwolesebwa nga Heifer International-Uganda.
Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, yataddeko omukono kulwa Kabaka Foundation, ate William Matovu n'assaako kulwa Heifer International.
Okussaako omukono kujuliddwa ba memba ba Bboodi ya Kabaka foundation, okuli; Oweek. Amb. Bill Matovu, Omuk. Peter Mpanga, Oweek. Christopher Bwanika, Oweek. Hajji Amisi Kakomo, Omuk. Douglas Mukiibi, wamu n'akolanga Ssenkulu wa BUCADEF Yahaya Mutumba.