Nnaalinnya Sarah Kagere nga akwasako satiifikeeti eri Kago, Chief wa Kyadondo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be wonna mu Buganda okujjumbira enteekateeka z’obulamu ezibaleeteddwa basobole okulaakulana kubanga omuntu omulamu yasobola okukola obulungi.
Omutanda, obubaka buno abutisse Nnaalinnya Sarah Kagere eyabusomye eri abantu be ku Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, mu mukolo ogw’okutongoza enteekateeka ya ‘Tubeere Balamu Campaign’ ekitongole kya Kabaka Foundation, era egenda okumalira ddala emyaka esatu miramba era ebune mu Masaza gonna.
Nnaalinnya Sarah Kagere nga atuusa obubaka bwa kabaka
“Mu nteekateeka z’okulwanyisa obulwadde bwa Kkookolo zetwalina mu Bulange nga 1, 03, 2024, kyazuulwa nti abantu baffe bangi balwadde ddala.
Abalwadde bano tebalina busobozi bwa nsimbi okusobola okwetuusaako obujjanjabi mu bujjuvu so nga amalwaliro n’ebifo abantu webasobola okufuna obujjanjabi n’okukeberebwa bitono ddala,” Bwatyo Nnyinimu bw’ategeezezza.