donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kabaka Birthday Run 2025: Buganda eyita abantu okudduka ku lw'obulamu n'obutondebwensi

Kabaka Birthday Run 2025: Buganda eyita abantu okudduka ku lw'obulamu n'obutondebwensi
Owek. Prof. Twaha Kaawaase ng’ategeeza ku nteekateeka z’emisinde ja Kabaka Birthday Run

Owek. Prof. Twaha Kaawaase ng’ategeeza ku nteekateeka z’emisinde ja Kabaka Birthday Run

Olunaku lwa Kabaka Birthday Run 2025 lutuuse, nga enteekateeka zonna zituuse ku ntikko. Mu ssaawa mbale, abantu ba Kabaka bajja kuba batandise emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II egy’omwaka guno.

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi lw’emisinde, era Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase, agumizza abantu okwetaba mu misinde nga balina mujoozi ogwa Kabaka Birthday Run 2025. Abatagenda kubeera nago tebagenda kukirizibwa kudduka.

Owek. Kaawaase asabye abantu okwetaba nga balina omulamwa gumu ogw’okujaguza obulamu n’okulwanyisa obulwadde, si lwa bifaananyi oba ebyobufuzi. Alabudde nti abakuumaddembe bagenda kulwanyisa ebyokunyaga amasimu, obupande bw’ebyobufuzi n’ebikolwa ebiraga obutaba na mutima gumu.

Abantu ku kyoto nga bakyusa enyama, bogoya, eranga bakola ebikola ebirala

Abantu ku kyoto nga bakyusa enyama, bogoya, eranga bakola ebikola ebirala

Abakuumaddembe bagumizza nti ebyokwerinda binywezeddwa mu bitundu byonna, era abantu basabiddwa okukozesa enguudo mu nteeko, n’okukuuma obutebenkevu.

Kabaka Birthday Run w’omu ku bika bikulu eby’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, era omwaka guno agenze okutuuka ku myaka 70. Emisinde gino gitegekeddwa ng’emu ku nteekateeka ez’enjawulo eziri mu bwakabaka okusiima obulamu bwa Kabaka.

Mu Buganda yonna, embuga z’amasaza, eggombolola, emiruka n’ebitundu ebirala zategekeddwamu ebyoto. Abantu ba Kabaka basomeseddwa ku bulamu bwa Kabaka, obulwadde bwa mukenenya, omusujja gw'ensiri, Bulungibwansi n'Obutondebwensi #KabakaMutebiAt70

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK