donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kabaka Ayozaayoza Lutikko e Lubaga Okuweza Emyaka 100

Kabaka Ayozaayoza Lutikko e Lubaga Okuweza Emyaka 100
Owekitiibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga asomera abakulisitu obubaka bwa Nnyinimu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Owekitiibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga asomera abakulisitu obubaka bwa Nnyinimu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Kabaka ayozaayozezza Ssaabasumba n’abakkiriza olw'a lutikko ye Lubaga kwewerezza emyaka 100

Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusaba kw'okujaguza mu lutikko ya St. Mary's Cathedral e Lubaga.

Obubaka bwa Nnyinimu butambudde bwe buti;

"Tubalamusizza mwenna, tuyozaayoza Ssaabasumba, omukulu wekifo bannaddiini nabakulisitu mwenna okuweza emyaka 100 bukya keleziya ye Lubaga etandika mulimu gw'okuyigiriza abantu baffe eddiini n'emirembe n'okwegatta.

Ebyafaayo biraga nti okuviira ddala ku Ssekabaka Muteesa 1 nti keleziya n'Obwakabaka bwa Buganda bubaddewo mu ddembe, okukolera awamu era nga buli omu yebuuza ku munne olw'obulungi bw'abantu baffe. Enkolagana eno evuddemu ebibala bingi omuli abakulembeze abaweerezza obulungi obwakabaka n'eggwanga lyaffe, twagala tukuume enkolagana eno.

Twenyumiriza nnyo mu ngeri keleziya eno gyetuusizza obuweereza n'eddoboozi lya kristu eri abantu baffe nga eyita mu kuggulawo ebigo, amasomero, amalwaliro n'ebintu ebirala. Tukimanyi bulungi nti omulimu guno tegutuukikako awatali bukulembeze bulungi n'okwewayo kw'aba kristu. N'olwekyo twebaza olw'okukubiriza abakirisitu okwongera okuwagira enteekateeka zino n'endala ezibangibwawo olw'okutumbula obulamu bw'omuntu wa bulijjo.

Ebiseera bingi tuwulidde keleziya nga evumirira embeera ezinyigiriza abantu omuli; okusosolwa olw'eddiini, eggwanga n'endowooza zaabwe mu by'obufuzi, obuvumu buno obw'okwogera amazima, okulwanirira eddembe, okwegatta n'okussa ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu tusaba keleziya ekwongere mu maaso.

Wano mu kifaananyi ekyawamu nga missa ewedde.

Wano mu kifaananyi ekyawamu nga missa ewedde.

Ffenna wamu tukubirize abantu baffe naddala abavubuka obutakyamizibwa buyinza wadde okugulibwa e ssente nga eggwanga lyaffe liggwawo olwa bannabyabufuzi abekkusa bokka na bokka.

Ekiseera kituuse ffenna okugatta eddoboozi okusaba abatukulembera ne bannayuganda bonna okukubaganya ebirowoozo ku butali bumativu obuli mu kukulemberwa n'okugabana eby'obugagga by'Ensi yaffe mu kyenkanyi nga tuyita mu kwekebejja constitution n'amateeka amalala agafuga e ggwanga lyaffe, guno omulimu twagutandikako dda tubasaba twongere okugatta eddoboozi ery'awamu ku nsonga eno.

Tuddamu okubayozaayoza okutuuka ku lunaku luno era twebaza na bonna abayambye mu kuddaabiriza keleziya eno, tusaba enkolagana ya keleziya n'Obwakabaka bwa Buganda eyongere okunywezebwa".

Ku lulwe, Katikkiro agambye nti emyaka 100 buwanguzi bw'amaanyi mu buli mbeera.

Atenderezza abaatusooka nti baakolanga binene okugeza, enzimba za keleziya, n'amasomero, nti beetegekanga nebeewa obudde nebakola ekintu eky'omutindo, n'asaba abantu okuzzaawo enkola eyo. Babeere bagumiikiriza bakole ebintu ebinene. "Tuzzeewo omwoyo gw'okwegomba ebintu ebinene era kisoboka okubituukako".

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK