donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kabaka asiimye omulimu gwa Mulondo – Nnaalinya Nkinzi aggulawo ekizimbe ‘Kabaka Mutebi II’ e Bombo Kalule

Kabaka asiimye omulimu gwa Mulondo – Nnaalinya Nkinzi aggulawo ekizimbe ‘Kabaka Mutebi II’ e Bombo Kalule
Ekizimbe ekipya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekigguddwawo ku St. Peter’s SS e Bombo

Ekizimbe ekipya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekigguddwawo ku St. Peter’s SS e Bombo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye omulimu ogukoleddwa Kkangaawo, Omulangira Ronald Mulondo, ogw’okutumbula ebyenjigiriza mu Bulemeezi n’Obwakabaka obwawamu.

Obubaka buno, Kabaka abutisse Nnaalinya Victoria Nkinzi, eyakulembeddemu ekikujjuko ekyabadde ku ssomero lya St. Peter’s SS e Bombo Kalule ku Lwokutaano.

Nnaalinya Victoria Nkinzi nga aggulawo ekizimbe

Nnaalinya Victoria Nkinzi nga aggulawo ekizimbe

Mu nteekateeka z’okujaguza emyaka 70 gy’amaze ku nsi, Kabaka Mutebi II aweerezza Nnaalinya Nkinzi okuggulawo ekizimbe ekyakaziddwa erinnya lye – "Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II" – ekya myaliriro 4 ekigenda okutegekerwamu abasoma ku mutendera gwa A-Level.

Abantu abenjawulo okuva mu Bulemeezi n’amawanga amalala baakung’aanye mu kiwendo ekinene, nga bagenda mu maaso n’okwaniriza obukulembeze bw’Obwakabaka obwabadde mu kifo. Nnaalinya Agnes Nabaloga n’Omumbejja Nachwa be baakulemberamu Abalangira n’Abambejja.

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, y’ayanirizza bannabufuzi bano n’abatenderezza ku buvunaanyizibwa bwabwe mu kutumbula ebyenjigiriza.

Awerekeddwako Omumyuka we Owookubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa; Omukubiriza w’Olukiiko, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule; ne baminisita abalala Owek. Noah Kiyimba, Owek. Joseph Kawuki, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, ne Owek. Robert Serwanga Ssaalongo.

 Katikkiro Mayiga nga ayaniriza Nnaalinya Nkinzi

Katikkiro Mayiga nga ayaniriza Nnaalinya Nkinzi

Mu bubaka bwa Ssaabasajja obwasomeddwa Nnaalinya Victoria Nkinzi, yebazizza Katonda olw’obulamu obulungi bwe yamuwadde okutuuka ku myaka 70, n’asaba abantu okwongera okwagala n’okuwagira ebyenjigiriza.

Omulangira Ronald Mulondo, Kangaawo wa Buganda, yasiimiddwa olw’omutima ogw’amaanyi g’atadde mu nteekateeka eno. Yakuutidde abayizi, abazadde n’abakulembeze b’essomero okutwala ebyenjigiriza nga nkizo enkulu mu maka gaffe.

“Ebyenjigiriza kye kimu ku mpagi enkulu ezeesigamwako enkulaakulana y’ensi n’abantu baayo. Eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bubisaako nnyo essira,” — Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Nnaalinya Nkinzi nga asomera abatuuze obubaka bwa Ssaabasajja

Nnaalinya Nkinzi nga asomera abatuuze obubaka bwa Ssaabasajja

image-7-05-04-2025.jpg
Obubaka bwa Kabaka mu kuggalawo ekizimbe e St. Peter’s SS Bombo Kalule

Obubaka bwa Kabaka mu kuggalawo ekizimbe e St. Peter’s SS Bombo Kalule

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK