donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kabaka asiimye n'awa abaami b'Amagombolola mu Ssaza Buvuma entambula

Kabaka asiimye n'awa abaami b'Amagombolola mu Ssaza Buvuma entambula

Y'amaato ne Pikipiki ng'ekirabo ky'okukuza amatikkira ge ag'emyaka 30.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, yakwasizza abaami be Gombolola amaato ne Pikipiki zino ku kyalo kitamiiro mu bizinga bye Buvuma.

Bwabadde atongoza entambula zino, Katikkiro agambye nti Omukulembeze yenna asaana natuuka ku bantu baakulembera naamanya ebibafaako, wano Ssaabasajja Kabaka wasinzidde n'abafunira entambula eno ebayambeko okutuuka ku bantu be yonna gyebali ku bizinga ebyenjawulo.

Mu kaweefube w'okulwanyisa mukenenya, Katikkiro agamba nti ogumu ku mirimu gwokukozesa amaato gano kwe kugamba abasajja babe basaale mu kwetangira mukenenya bataase abaana abawala.

Katikkiro era alaze ebibalo ku mukenenya okuva Ssaabasajja Kabaka lweyafuulibwa emunyeenye mu kulwanyisa mukenenya mu Africa. Biraga nti abavubuka beeyongedde okubeera abeegendereza, abalwadde beeyongedde okufuna eddagala, era biraga nti n'abeekebeza bategeere bwebayimiridde beeyongedde.

Mu ngeri yeemu, Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa omulimisa w’essaza pikipiki, emuyambeko okubunyisa enjiri ku byobulimi, n'amusaba agikozese bulungi.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek Joseph Kawuki alaze obuwanguzi e Ssaza Buvuma bwerizze butuukako mu bukulembeze obuliko, n'agamba nti lisenvudde nnyo era lijja kutuuka ku biruubirirwa byalyo.

Abakulembeze abenjawulo mu Buvuma banjulidde Katikkiro ebituukiddwako wamu n'ebibasomooza.

Abaweereddwa Pikipiki,

Ssaabagabo Nairambi

Musaale Ssejja

Omulimisa w'Essaza

Image

Katikkiro nga awayo amaato.

Image

Katikkiro nga awaayo Pikipiki eri abaami b'amasaza.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK