Ssaabawolereza w’Obwakabaka era Minisita wa Gavumenti ze bitundu, Oweek Christopher Bwanika, yeyakoze omulimu gwokubatikkula kulwa Katikkiro.
Mu bubaka bwe, Oweek Bwanika, yakubirizza abantu ba Kabaka okukola obutaweera okusobola okwaganga ebisomoozo ebiva ku byenfuna.
Yajjukizza abaami ba Kabaka okukolagana obulungi n’abantu ssaako n'abakulembeze ku mitendera gyonna okusobola okukwatira awamu okuzza Buganda ku ntikko.