Bino byogeddwa Minisita avunaanyizibwa ku byemizannyo, Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, bw’abadde ayanjula engabo ezivuganyizibwa eri Obuganda, enkya ya leero ku Bulange.
Engabo zino ebbiri, emu ewakanyizibwa abakyala mu bika byabwe, ate endala n’ewakanirwa abaami.
Minisita agambye nti emipiira egyakamalirizo mu mpaka zino ku njuyi zombi gya Lwamukaaga luno, e Wankulukuku, nga abaami Olugave lwakuttuunka n’Endiga, so nga mu bakyala, Emmamba Gabunga ya kuttunka n’Engeye.
Ebisale bya kusaulira ku mulyango ng’oyingira ekisaawe, okuva ku ssaawa 2:00 ezookumakya. Abato, 5,000/=; Abakulu, 10,000/=, Abakungu 20,000/=.