Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba nga ayogerako ne banamawulire
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba avvudeyo ku nsonga z'okutereka Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa eyatemulwa gyebuvuddeko.
Ategeezeza nti Omutaka taterekebwa okutuusa ng'Omusika we afuniddwa bw'atyo n'alambulula emitendera egigobererwa mu kutereka Omutaka Omubuze wano mu Buganda.