Abeby'okwerinda nga nga balambula olubiri awanabeera abadusi okusobola okunyweza eby’okwerinda
Mu kwongera okwetegekera emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka egisigaddeko ennaku 11 zokka.
Ab'ebitongole ebikuuma ddembe basisinkanye ne leero okwongera okulaba ebituukiddwako.
ACP Twishiime Gerald, ategeezeza nti baamaze okulambula enguudo zonna abaddusi mwebagenda okuyita, era beeteseteese okuwa abantu ba Kabaka obukuumi obumala, kyokka asabye abaneetaba mu misinde okukuuma empisa ku lunaku olwo, basobole okunyumirwa obulungi, n'obutataaganya ddembe ly'abalala.