Okuyita mu kitongole kya Buganda eky'Obulambuzi n'Ennono, ebintu bingi ebigenda okwolesebwa naye okusingira ddala okusoosowaza Amasiro g'e Kasubi okulaga abantu wegatuuse mu kiseera kino nga gaggyibwa ne ku lukalala lw'ebifo ebiri mu katyabaga.
Ekigendererwa ekikulu eky'okwetaba mu mwoleso guno, kwe kulaga abantu mu okuva mu mawanga ag'enjawulo eby'obulambuzi ebingi ebiri mu Buganda ne Uganda wamu n'ebyafaayo ebibyetoolorerako, olwo abalambuzi bongere okujja kuno, Eggwanga ne Bannansi bongere okufuna ku nsimbi eziva mu byobulambuzi.