Oweek. Christopher Bwanika ne Oweek Noah Kiyimba nga bali ne katikkiro w’ekika ky’e Mpologoma
Ssaabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika agenzeko e Lwadda ku lw'Obwakabaka okulaba enteekateeka z'okutereka omukulu w'Ekika ky'Empologoma bweziyimiridde.
Enteekateeka zigenda mu maaso okulaba ng'Omutaka omubuze aterekebwa ku Lwomukaaga luno era abazukkulu bakubiriziddwa okuwagira enteekateeka zonna ezigenda okulaba nga Jjajjaabwe aterekebwa mu kitiibwa.
Ekifo omutaka Namuguzi w'agenda okuterekebwa
Oweek. Bwanika yeebaziza nnyo abali mu nteekateeka, olw'okutambuza obulungi omulimu, era ayongedde okubasaasira olw'okuviibwako Omutaka Namuguzi Ssebuganda Wilson Ndawula.
Ssaabawolereza awerekeddwako Oweek. Noah Kiyimba Minisita era baanirizibwa Katikkiro w'Ekika Kireega Ddungu Patrick Kisekka.