Ssettendekero wa Muteesa I Royal University mu butongole agenda kukwasibwa charter ku lwokusatu luno nga 12th June ku ttabi e kkulu e Kirumba Masaka.
Enteekateeka zino zirangiriddwa Dr. Fred Musisi akulira eby'ensoma ku ssettendekero ono, mu lukungaana lwa bannamawulire, n'ategeeza nti enteekateeka zonna ziwedde okujaguza obuwanguzi buno ku ttabi ekkulu e Masaka, era omukolo gutandika ssaawa bbiri ez'okumakya nga omugenyi omukulu ye Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Jamir Birende, kitunzi wa Ssettendekero ono agambye nti charter egenda kubayambako okufuna abayizi abali ku loan scheme ya Government era kino kibayambye okuddamu ebibuuzo ebibadde bibabuuzibwa abazadde oba amasomo ga Ssettendekero wa Muteesa gavuganya ku ddaala ly'ensi yonna.
Abakulira abayizi ku matabi ga ssettendekero ono bakunze bannaabwe bajje beetabe mu kujaguza kuno kubanga bakwatibwako butereevu.