Abakyala nga bakulembedwamu Oweek Mariam Mayanja
Ekifo kiyoyooteddwa bulungi, ebyokwerinda binywezeddwa, abasomesa bali bulindaala.
Bwabadde awumbawumba enteekateeka y'enkya nga bweri, Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, ategeezezza abakyala abaggya mu ttabamiruka nti omukolo guli mu Lubiri e Mmengo teri walala.
Eri abo abajja n'ebidduka byabwe, abasabye obutayonoona miti egyasimbibwa mu lubiri.
Oweek Mariam agambye nti waliwo emisomo abakyala gyebalina okwefumiitirizaako okuli, emisolo gya Gavumenti, Insurance, omwana omulenzi, n'obuwangwa.
Okusinziira ku Minisita Mariam, basuubira abantu abasoba2000 era asabye buli anaggya agye ne kaadi kweyasasulira.
Ssentebe wa Ttabamiruka w'Abakyala, Omuk. Dr. Sarah Nkonge Muwonge, akunze abakyala yonna gyebali naddala mu Masaza ga Buganda baggye mu Ttabamiruka babeeko byebayiga ebinaabayamba mu ntambuza y'obulamu n'emirimu gyabwe.