Ebifananyi by'abagenzi
Omulangira Prof. Samuel Ndawula Kisozi Kajumba, n'Omumbejja Azalia Zalwango Mutebi, baterekeddwa mu nkola ya sayansi mu maka ga Jjajaabe Adonai Luwedde Kajumba e Nyanama.
Omulabirizi we Mityana Ssaalongo James Bukomeko yakulembeddemu okusaba. Obubaka bwe butambulidde ku bantu okwekwasa Katonda, olwo ekiseera ky'okuwummula nga kituuse omutonzi afune kwasinziira okubalamula obulungi.
Mu bubaka bwatisse Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, Katikkiro yebaziza Rev. Dan Kajumba olwokutambulira mu bigere bya kitaabwe Adonai okuweereza Kabaka we obuteebalira.
Ku lulwe, Minisita Kiyimba yeebazizza Rev. Dan Kajumba olw'okulungamya okwenjawulo kwamuwa ku bya pulotoko ekibakuumidde mu kuyiga buli kiseera.
Ssaabalangira Godfrey Musanje ayogedde ku nju ya Kajumba ng'emu kwezo ezikyalimu empisa ku mulembe guno omutebi.
Omulangira Prof. Samuel Ndawula Kajumba yafa nga 27 Museenene 2023 mu America.
Ababiri bano baziikiddwa mu America gyebabadde bawangaalira.