Abakulembeze b'Obwakabaka bakungaanidde ku Butikkiro mu Lusirika, okwetunulamu ku nteekateeka ezitambulizibwako emirimu mu Bwakabaka.
Olusirika luno luli ku mulamwa ogw'Enteekateeka Nnamutaayiika 2023 - 2028.
Katikkiro y'aluguddeyo n'asaba buli omu okubaako ettoffaali erizza Buganda ku ntikko ly'assaako, nga bassa essira ku kukyusa embeera z'abantu.