
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ye Kabaka aliko owa Buganda. Yazaalibwa nga 13 Kafuumulampawu 1955, nga kitaawe Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ali mu buwangwa e Bungereza, mu ntandikwa y’obutabanguko bwa byabufuzi mu Uganda.
Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II ye Kabaka wa 36 owa Buganda, era anaajaguza amazaalibwa ge nga 13 Kafuumulampawu 2025.
Emikolo gya Ssaabasajja Kabaka ginaatandika okuva nga 4 Kafuumulampawu okutuuka ku 13 Kafuumulampawu 2025 wansi w’omulamwa:
"Tubeere balamu nga tujjumbira okwegemesa n’okwejjanjabisa endwadde zonna."

Enteekateeka y’Emikolo
- 📅 04/04/2025 – Okuggulawo ekizimbe Kabaka Ronald Mutebi II ku St. Peter’s Bombo-Kalule
- 📅 05/04/2025 – Ebyoto ku Mbuga z’Amasaza n’Amaggombolola
- 📅 06/04/2025 – Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka
- 📅 08/04/2025 – Okuggulawo Eddwaliro ly’Obwakabaka e Busimbi-Ssingo
- 📅 11/04/2025 – Okwasa Abaami b’Amasaza Kalakita
- 📅 13/04/2025 – Okusabira Omutanda mu Masinzizo ag’Enjawulo
Abantu ba Kabaka mu Ssaza Singo beebamu ku bagenda okuganyulwa mu mulamwa gwa "Tubeere balamu" olunaku lwenkya.