donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Entambuza y’emirimu gy’Olukiiko lwa Buganda etuuse e Buvuma

Entambuza y’emirimu gy’Olukiiko lwa Buganda etuuse e Buvuma
Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga asomesa abakulembeze mu Ssaza Buvuma

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga asomesa abakulembeze mu Ssaza Buvuma

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, akulembeddemu enteekateeka y’okulondoola obuweereza bw’Olukiiko lwa Buganda okulaba nga etuuka ku bantu ba Kabaka yonna gyebali. Buvunaanyizibwa bwa buli mukiise okutuusa ebirowoozo by’abantu b’akiikirira ate n’azzaayo ebyo ebituukiddwako mu ntuula z’Olukiiko lwa Buganda n’Obukiiko bw’Olukiiko.

Enteekateeka eno etwaliddwa mu Ssaza Buvuma era abaayo Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, abalaze Olukiiko lwa Buganda engeri gy’erukubirizibwamu nga lugoberera ennambika y’Obwakabaka.

Abannyonnyodde nti Olukiiko lwa Buganda abakiise bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo ezireeteddwa Sipiika, era Sipiika y’alina obuvunaanyizibwa okuwa omukisa omukiise yenna awanise omukono okukubaganya ebirowoozo. Abakiise balina okuteesa ku nsonga zokka eziragiddwa ku lukangaga, okuwuliziganya, butya bwe banja ensonga, okuwa abakiise abalala ekitiibwa n’okufuba okuwandiika ebigenda mu maaso mu kuteesa okusobola okugoberera obulungi.

Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, asabye Abaami ba Kabaka okukwatizaako Owek. Mbuubi okusitula Ssaza era bakitwale nti obuvunaanyizibwa obw’abawaweebwa Ssaabasajja Kabaka bw’abwe kubanga be bannannyini kitundu ekyo.

Ku nsonga y’ebbula ly’ebyennyanja, Owek. Kiyimba abasabye obuteeraliikirira kuggwawo kwa by’ennyanja, wabula batunuulire engeri endala ezisobola okuvaamu eky’okulya n’ensimbi.

Mbuubi Micheal Mboowa, Omwami w’Essaza Buvuma, aloopedde Sipiika obugayaavu obuli mu bakulembeze b’Emiruka n’ebyalo nti tebajjumbira kutuula mu nkiiko, ekiviiriddeko okuzingamya entambuza y’emirimu. Takomye awo, amuloopedde abakulembeze ba Gavumenti ya Wakati abalemedde mu bizimbe by’Obwakabaka, ekiremesezza emirimu okutambula kinnawadda, ate nga n’embeera y’ebizimbe tesanyusa, byetaaga kuddaabirizibwa.

Abaami ba Kabaka abeetabye mu lukiiko luno baweereddwa omukisa okubaako ebibuuzo bye babuuza Sipiika era baddiddwamu.

Enteekateeka eno ya kubuna amasaza ga Buganda gonna.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK