
Katikkiro nga awabubakabwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde ayogera mu nsisinkano ya Airtel n'abakulembeze mu Bwakabaka, ku nkola y'okugula emigabo mu kamkuni ya Airtel gyebatuumye "Initial Public Offer" (IPO) ku Sheraton Hotel enkya ya leero.
"Ffenna twegwanyiza birungi, omuli, okulaakulana n'okwezimba, era bwoba tosobola kwegwanyiza kintu oba tosobola ku kituukako.
Ffe mu Bwakabaka tukuba ekifaananyi nga abantu bali bulungi, balya bulungi, baweerera abaana, basula bulungi, bejjanjaba, tebasula na mbuzi, nga obuwangwa bwaffe tubweyagaliramu awatali ku tukuba ku nsolobotto, ekyo kye kitukeeza buli lunaku okutema empenda okulaba nti Bhganda edda ku ntikko.
Twegwanyiza banna mikago nga Airtel abatutegeera, bawagira ebyo ffe byetwegomba bye twefumiitiriza era byetwagala okutuukako. Kizibu okuba ne munna mukago nga temugabana birowoozo. Noolwekyo tutta omukago ne Airtel kubanga ffe byetwenyumirizaamu babissaamu ekitiibwa nebatuwagira tusobole okubituukako.
Agamba nti mu nsi ento, ensimbi tuzisiga mu byetwamanyiira, okugeza amayumba g'abapangisa, ssemaduuka, Saloon, amasomero, nabyo ssi bibi, naye twebuuze abaatusooka mu by'obusizi bw'ensimbi bakola batya.
Akubirizza abasuubuzi beetegereze eby'emigabo, balage obumalirivu kuba nabyo bifuna.