
Wano ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo nga zigenda mu maaso mu bimuli bya Bulange
Ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo ez’Obwakabaka bwa Buganda 2025 zaabaddewo leero, abayimbi nga batandise okuwawula amaloboozi, ate n’abagenyi ab’enjawulo nga bwe batuuka ku mukolo guno.
Nga bwe kiba buli mwaka nga Obwakabaka buggalawo emirimu, Obwakabaka bwa Buganda butegeka omukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo. Ku mulundi guno, enteekateeka zikulembeddwamu Ekelezia Katolika, ate Buganda Royal Institute y’akulembeddemu ebitongole by’Obwakabaka mu kutegeka omukolo gw’omwaka guno.
Kwaaya nnya (4) okuva mu Ekelezia Katolika ze zetabye mu nnyimba z’amazaalibwa ez’omwaka guno, wamu ne kwaaya y’abaweereza b’Obwakabaka eyawamu. Bano bakoolobye ennyimba ezisuusuuta omutonzi mu maloboozi agawooma ennyo.
Ssaabasajja Kabaka asiimye n’aweereza omugenyi omukulu ku mukolo guno nga ye Mulangira Herbert Kateregga, awerekeddwako Omuzaana Solome Mirembe n’Omulangira Felix Muteesa. Omulangira Kateregga yakulembeddemu akatuuso k’okusala kkeeki n’okukoleeza omuti gwa Ssekukkulu, ng’akabonero ak’okuggalawo emirimu gy’Obwakabaka mu mwaka guno era n’okwagaliza abaweereza ba Kabaka Amazaalibwa ga Kristo ag’essanyu n’omwaka omuggya ogw’emirembe.

Mulangira Herbert Kateregga nga asala kkeeki ku mukolo e Bulange
Ssaabasumba Paul Ssemogerere, mu kubuulira kwe, yebazizza Katikkiro n’Gavumenti ya Kabaka yonna olw’okufaayo ennyo ku kifaananyi ky’Obwakabaka mu ngeri ey’esiimisa mu ggwanga ne mu nsi yonna.
Kyokka Ssaabasumba talemereddwa kunenya ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebigenda mu maaso mu ggwanga. Avumiridde obubbi bw’obululu obweyolekera mu kulonda, n’asaba Akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu ak’amazima era ak’obwenkanya. Era asabye n’abakuumaddembe okukomya okukuba abantu emiggo n’okubabalagala omukka.
Ssaabasumba asabidde eggwanga lyonna emirembe mu kiseera ky’akalulu awamu n’eggandaalo lya Ssekukkulu.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asinzidde ku mukolo guno okweyanza Ssaabasajja Kabaka olw’okutondawo ebitongole ebireese emirimu eri abantu be. Era alangiridde nti emirimu gy’Obwakabaka giggaddewo mu butongole okutuuka nga 5 Gatonnya 2026.
Kamalabyonna atenderezza emirimu egyakoleddwa mu Bwakabaka mu mwaka guno, mu byenjigiriza, eby’obulamu, eby’emizannyo, okusisinkana abantu ba Ssaabasajja, okukolagana ne bannamukago n’ebyafaayo ebirala.
Agamba nti, “Wadde nga emirimu mingi gikoleddwa mu by’enjigiriza, eby’obulamu, obuwangwa bwaffe, okulwanyisa obwavu, okutambula n’abavubuka, n’okulwanirira ekifaananyi ky’Obwakabaka, omulimu ogusinga obukulu mu 2025 kwe kumaliriza Amasiro g’e Kasubi nga bwe nnalangiridde nga 12 December.”
Owek. Mayiga ayanjudde n’ebitongole by’Obwakabaka nga bwe bikoze mu ntambuza y’emirimu, era leediyo CBS y’erangiriddwa ng’ekitongole ekisinga okukola obulungi mu 2025, ne baweereddwa engabo n’esseddume ly’ente. Ebitongole ebiddiridde, nga mw’otadde BBS Terefayina n’ebirala, byonna byasiimiddwa ne biweereddwa embuzi.
Wabaddewo n’okusiima abakozi abeeyagazizza mu buweereza bw’Obwakabaka mu mwaka guno, era bonna baweereddwa amayinja ag’okubasiima.
Ekitongole kya Lubiri High School, ettabi ery’e Mengo, kye kirangiriddwa ng’ekiriba kikulembeddemu okutegeka omukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo omwaka ogujja.
Omukolo guno gwetabiddwaako Abalangira n’Abambejja ab’enjawulo, Abataka abakulu ab’Obusolya, Kabineeti ya Kabaka, Abaami b’Amasaza, Bassenkulu b’ebitongole, Bannaddiini, abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka byonna n’abagenyi abalala.