
Omukubiriza w’olukiiko lwa Bataka, Owek. Anthony Wamala, n’abeekika ky’eKinyomo.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek Dr. Anthony Wamala asiimye emirimu egikoleddwa Abannyomo bw’abadde atuukiriza obweyamo bwe yakola okuddayo ku butaka bw’Ekika ky’Ekinyomo e Kyasa Zzimwe mu ggombolola y’e Kyanamukaka, Buddu.
Minisita asoose kulambuzibwa mbuga y’Ekika awamu n’Embuga ya Kawannaku abazukkulu we bakuŋŋaanira okwanjulira bajjajabwe ebisoomozo n’ebirungi ebituukiddwako era asiimye omulimu ogukoleddwa okugiyoyoota n’abasaba okuyita abazzukulu badde awaka balabe ku ttendo lino.
Minisita Wamala abeebaziza okukola enkyuukakyuka ku Mbuga eno nga agamba nti kati waliwo enjawulo nnene nnyo okusinziira ku ngeri gye yagirekamu n’abasaba okukola olutentezi okulaba nga ebintu ebiteekeddwawo tebifa nga emiti okufukirirwa, obupande obwawanikiddwa n’ebirala.
Minisita Wamala bano era abakuutidde okubeera abesigwa mu nsonga ezikwata ku bantu ababawa ensimbi ziteekebwe mw’ekyo kye ziteekeddwa okukola olwo abazzukulu bafune obuvumu okubongera endala.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti ab’ekika kino okusikiriza abazzukulu n’abantu abalala okujja ku butaka bwabwe baasanidde okw’enyigira obutereevu mu nsonga ezisosoowaza obuwangwa bwabwe nga bayita mu kwogera lulimi Oluganda mu maka gaabwe, enyambala, okwagala Obutaka bwabwe n’ebirala.
Omukulu w’Ekika ky’Ekinyomo Omutaka Nakigoye Lukabya Nabimba Samson yebaziza nnyo Minisita ebirowoozo bye yabawa eby’okwekulaakulanya ku Mbuga nga kati bali ku ddimu lya kuyooyota ekifo kino awamu n’okuteekawo ekifo abantu we basobola okwewummulizaako nga bazze ku butaka buno nga balina essuubi nti kijja kusikiriza abalambuzi ab’enjawulo mu nsi yonna.
Omwami wa Kabaka ow’essaza Mawogola Muteesa Owek. John Kankaka ate nga ye Mumyuka wa Katikkiro Asooka aweze okutambulira awamu n’ekika kye naddala ku ddimu lye baliko ery’okubbulula ekika.
Katikkiro w’Ekika kino Mw. Peter Ssenkungu Kigoye agamba nti bali mu kaweefube ow’okuzza abazzukulu okumanya amasiga ge bavaamu nga bayise mu kusooka kunyweza bukulembeze mu kika kyabwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Katikkiro w’Ekika kino Mw. Peter Ssenkungu Kigoye n’abamyuka be; Oweek. John Kankaka ne Mw. Ntamu Alex Kalinzi, Mw. Omukwanaganya w’Obuwangwa n’Ennono Mw. Patrick Sseruwagi, Omukwanaganya w’Ebitabo n’Okunonyereza Muky. Shifah Namubiru n’abantu abalala.