Endiga ekubye Olugave, ggoolo 1-0, ogw'abaami, ne wangula engabo y'ebika omulundi gwayo ogusoose. Katikkiro yaabakwasizza engabo ne kavu wa bukadde 9.
Mu ngeri yeemu, Engeye ekubye ekubye Emmamba Nnamakaka ggoolo 37 - 35, mu gw'okubaka ne wangula engabo y'ebika mu bakyala. Bano nabo Katikkiro abakwasizza engabo ne kavu wa bukadde 7.
Tubayozaayoza nnyo bannaffe.