Omulangira Kassim Nakibinge ng’akulembeddemu baminisita b’obwakabaka mu kujjukira olunaku luno
Giweze emyaka 58 bukya Olubiri lulumbibwa amaggye ga Uganda n'ekigendererwa eky'okutuusa obulabe ku Ssekabaka Muteesa II.
Olubiri luno lwalumbibwa nga 24 May,1966, era Abasiraamu ne bategeka okusabira Obwakabaka okujjukira olunaku luno.
Ku Muzikiti e Kibuli, wabaddewo okusabira Obuganda ne Kabaka Ronald Mutebi II, Katonda ayongere okumukuuma, n’okumuwa obulamu obulungi ng’ali ku Nnamulondo.
Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, yaasomye obubaka bwa Katikkiro oluvannyuma lw’okusaala Juma.
Okusaala nga kugenda mu maaso
Mu bubaka bwe, Katikkiro ategeezeza nti,Obwakabaka bwakomawo, era ebiseera eby’okwekubagiza byakoma.
“Tulina okulwana okuzzaawo n’okunyweza ekitiibwa kya Buganda”
Wano era ayongedde okusaba Gavumenti okuddiza Obuganda ebyayo ebikyasigalidde, kubanga byanyagibwa bunyagibwa n'olwekyo kiba kikolwa kya bwenkanya okubuddiza bannyini byo.
Ebintu ebyanyagibwa mulimu ebizimbe by’amasaza n’amagombolola, ettaka n’ebirala, ng’emyaka 58 wegiweredde, ebisinga obungi byakomawo, kati Obwakabaka busaba n’ebikyasigalidde bikomewo.